Archive for ‘Luganda News’

Christopher Thomas yeetonze

Christopher Thomas  yeetonze

Bya JOSEPHAT SSEGUYA BBA w’omumbejja Ruth Komuntale ateereddwaako akazito ne yeetonda olw’empisa ensiiwuufu z’azze alaga mu bufumbo bwabwe n’atuuka n’okusaba kkooti ebagattulule nti mukyalawe mwenzi. Omumerika omuddugavu, Christopher Thomas yetondedde Bannayuganda, abantu b’e Toro, famire ya Komuntale ne famire ye mu Amerika n’agamba nti yejjusa olw’okwefuula ng’aliko ekimuwujja n’asamwassamwa n’ebigambo ebiweebuula obufumbo bwabwe obwali...

Full story

Tags:

Andrew Felix Kaweesi eyabadde asindikiddwa okusoma mu Amerika akomyewo

Andrew Felix Kaweesi eyabadde asindikiddwa okusoma mu Amerika akomyewo

Omuduumizi wa Poliisi mu Kampala, Andrew Felix Kaweesi eyabadde asindikiddwa okusoma mu Amerika akomyewo oluvannyuma lw’okusanga kkoosi gye yagendako yayimirizibwamu oluvannyuma lw’abekibiina kya Republican okulemwa okukkaanya ne Pulezidenti Barack Obama ku ntegeka ze ez’obujjanjabi.

Full story

Andrew Kaweesi agenze kuntedekebwa mu FBI

Andrew Kaweesi agenze kuntedekebwa mu FBI

MUDUUMIZI wa poliisi mu ggwanga, Gen Kale Kayihura asindise kipayoppayo aduumira poliisi mu Kampala n’emiriraano Andrew Kaweesi mu Amerika mu ttendekero ly’abakessi ba FBI akuguke mu bukodyo bw’ekikeesi asobole okwang’anga ebikolwa by’ekitujju mu Kampala.. Byeyongere wano:

Full story

AGAAKAGWAWO:

AGAAKAGWAWO: Omusuubuzi Omuyindi ategeerekese nga Patel Katesh (35) awanuse ku akeedi ya Galiraaya ku William Street mu Kampala neyekkata wansi naafiirawo. Kigambibwa nti Patel ono asoose kufuna buttakkaanya ne bakozi banne mu dduuka ly’eddaggala erimanyiddwa nga Good Day Pharmacy. Omulambo gwe gujjiddwawo Poliisi ne gutwalibwa mu ddwaliro e Mulago, ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso,...

Full story

Beetingi: Abamu abafunira abalala bamuwanda lulusu

Beetingi: Abamu abafunira abalala bamuwanda lulusu

Bya DAVID WILLIAMS KIBANGA, VALLY MUGWANYA NE SHABAN LUBEGA BEETINGI kwe kusiba ssente ku mizannyo ng’oteebereza ebinaagivaamu n’ekigendererwa ky’okufunamu ssente. Mu Uganda beetingi yatandika mu 2003 ne kkampuni eyali emanyiddwa nga Great Bet Uganda kyokka okufuuka ow’ettutumu yatandika mu 2007 kkampuni ya Sports Betting Africa (SBA) bwe yatandika okukola. Mu kaseera kano, kumpi buli...

Full story

Bungereza eyingidde mu by’Omuzungu wa Black

Bungereza eyingidde mu by’Omuzungu wa Black

Bya MARGARET ZIRIBAGGWA NE MARTIN NDIJJO GAVUMENTI ya Bungereza etakula mutwe okuzuula omuzungu David Greenhalgh eyali muganzi wa Bad Black gy’aggya ssente z’ayiwaayiwa. Kino kiddiridde poliisi ya Uganda okuzuula nti talina kkampuni z’amaanyi muno nga bwe babadde basuubira kyokka ng’engeri gy’adiibuudamu ssente yeewuniikiriza. Bad Black mu biseera bye eby’eddembe. Okutuuka ku kino, poliisi y’e...

Full story

Nnaabagereka ategese olukung’ana okutumbula embeera z’abantu

Nnaabagereka ategese olukung’ana okutumbula embeera z’abantu

Bya Margaret Ziribaggwa NNAABAGEREKA wa Buganda, Sylvia Nagginda ne Kkwiini wa Toro Best Kemigisha bategese olukung’aana gaggadde olugenda okwetabwamu bakyala ba Bakabaka okuva mu Bwakabaka obuli mu Afrika, abambejja wamu n’abakulembeze b’ennono. Olukung’aana luno lwe bagenda okweyambisa okutongoza enkolagana ya Bannaabakyala b’Obwakabaka mu kaweefube w’okutumbula embeera z’abantu. Olukung’aana luno lwakutandika nga September 3 lukomekkerezebwe...

Full story

Museveni awadde Kiprotich emmotoka

Museveni awadde Kiprotich emmotoka

Bya Catherine Lutwama Omuddusi Steven Kiprotich obuwanguzi bwe yatuukako jjuuzi e Moscow ekya Russia abutwaliddeko n’omukulembeze w’eggwanga amukyazizza mu maka ge e Rwakitura ettuntu lya leero. Kiprotich yakawangula emidaali gya zaabu ebiri, ogwasooka gwali mu mpaka za Olympics mu kibuga London e Bungereza mu August 2012 bweyawangula zaabu mu mbiro eza marathon ate naddamu...

Full story

Omuyimbi Iryn Namubiru akomyewo

Omuyimbi Iryn Namubiru akomyewo

OMUYIMBI Iryn Namubiru kyaddaaki akomyewo. Namubiru atuuse ku kisaawe e Ntebe ku ssaawa musanvu ogw’emisana wakati mu by’okwerinda eby’amaanyi. Namubiru awerekeddwaako oluseregende lwa mmotoka ne pikipiki okwolekera Kampala, ku Hotel Africana.

Full story

Omuyimbi Big Eye abaana azaala Bazungu

Omuyimbi Big Eye abaana azaala Bazungu

OMUYIMBI Big Eye akutte muninkini we Sheilla Patience n’amutwala mu situdiyo ne beekubisa ebifaananyi ng’amuweeweeta olubuto. Olumaze ne yeekubisa n’ebirala ng’akutte abaana b’Omuzungu manya abaana be ne babiteeka ku mukutu gwa Facebook. Omanyi Big Eye ennaku ezo abadde n’ebizibu bingi oluvannyuma lwa kabiite we okulwala ate n’emu ku mmotoka zaabwe n’efuna akabenje n’esaanawo ekyamuleetedde n’okusazaamu lonki ye. Wabula abamu ku bantu abaalabye ebifaananyi bino obwedda bamukeneka nga beewuunya engeri omukazi omukulu gye yeeyambulira mu...

Full story

Copyright © 2017 ugandan online radio. All rights reserved.
Proudly powered by karibufm. Developed by KARIBUFM.COM